1 Chronicles 2

Abaana ba Isirayiri

1Bano be baali batabani ba Isirayiri:
Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni,
2ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.

3 aBatabani ba Yuda baali
Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani.
Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta.
4 bTamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera.
Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.

5 cBatabani ba Perezi baali
Kezulooni ne Kamuli.
6Batabani ba Zeera baali
Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano.
7 dMutabani wa Kalumi ye yali
Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.
8Mutabani wa Esani ye yali
Azaliya.
9 eBatabani ba Kezulooni baali
Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi.

10 fLaamu n’azaala Amminadaabu,
Amminadaabu n’aba kitaawe n’azaala Nakusoni, eyali omukulu w’ekika kya Yuda.
11Nakusoni n’azaala Saluma,
ne Saluma n’azaala Bowaazi,
12 gBowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.

13 hYese n’azaala
Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri,
Simeeyi nga ye wookusatu,
14Nesaneeri nga ye wookuna,
Laddayi nga ye wookutaano,
15Ozemu n’aba ow’omukaaga,
Dawudi nga ye wa musanvu.
16 iBannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri.
Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.
17 jAbbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.

18Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi.
Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.
19 kAzuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 lKuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.

21 mOluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.
22Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
23 nNaye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga.
Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.

24 oKezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.

25Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba
Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya.
26Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.
27Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali
Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.
28Batabani ba Onamu be baali
Sammayi ne Yada,
ate batabani ba Sammayi nga be ba
Nadabu ne Abisuli.
29Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.
30Batabani ba Nadabu be baali
Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana.
31Mutabani wa Appayimu yali
Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi.
32Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali
Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana.
33Batabani ba Yonasaani be baali
Peresi ne Zaza.
Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.

34Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,
ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala.
35Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.
36 pAttayi n’azaala Nasani,
ne Nasani n’azaala Zabadi.
37Zabadi n’azaala Efulali,
ne Efulali n’azaala Obedi.
38Obedi n’azaala Yeeku,
ne Yeeku n’azaala Azaliya.
39Azaliya n’azaala Kerezi,
ne Kerezi n’azaala Ereyaasa.
40Ereyaasa n’azaala Sisumaayi,
ne Sisumaayi n’azaala Sallumu.
41Sallumu n’azaala Yekamiya,
ne Yekamiya n’azaala Erisaama.

42 qOmwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,
ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu.
Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.
43Batabani ba Kebbulooni baali
Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.
44Sema n’azaala Lakamu,
ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu.
Lekemu n’azaala Sammayi.
45 rMutabani wa Sammayi n’azaala Manoni,
ne Mawoni n’azaala Besuzuli.
46Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira
Kalani, ne Moza ne Gazezi.
Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.
47Batabani ba Yadayi baali
Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.
48Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira
Seberi ne Tirukaana.
49 sMukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna.
Seva n’azaala Makubena ne Gibea.
Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.
50 tAbo be baali bazzukulu ba Kalebu.

Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda,
Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu,
51Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.
52Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba
Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi,
53 un’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.
54 vBatabani ba Saluma baali
Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli,
55 wn’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.
Copyright information for LugEEEE